Amawulire

President wa kenya n’omumyukawe balayidde.

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba

Omukulembeze we gwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta akubye ebirayiro ng’omukulembeze we gwanga n’omumyuka we William Ruto nga  bano kakano bafuuse abakulembeze abajuvu.

Mu kwogerako eri egwanga President Uhuru Kenyatta atandise na kusiima mukama akuumye egwanga lino mukadde ak’okulonda okubadde okuwanvu.

Kenyatta agambye nti okuvuganya kuno kwali kwamaanyi, nga kyagenda okukola kwekutuula atunula mu birowoozo byabanne beyavuganyiza nabo ebinaaba bisoboka abiteeke mu nkola.

Ono asuubiza nga bwagenda okufuba okulaba nga abeera president wa bonna, atagenda kwelowoozako yekka, newankubadde okufa kubamuwagira bokka.