Amawulire

President Museveni Emyaka Gikyali -NRM

Ali Mivule

May 12th, 2014

No comments

 Museveni and son

Bannakibiina kya NRM batabukidde ab’oludda oluvuganya gavumenti abemulugunya ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni nga tusemberera okulonda kwa 2016.

Wiiki ewedde waliwo ekibinja ky’aboludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga  Theodore Ssekikubo abemulugunya  nga omukulembeze w’eggwanga  bwajja okuba nga asussa mu myaka 75 mu kulonda kwa 2016 ejikirizibwa omuntu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.

Wabula ye omwogezi w’akabondo k’ekibiina kya NRM Evelyn Anite agamba bino byonna bwabwewussa era bano n’abawa amagezi bemalire ku bintu bizimba eggwanga bave mu kwogera ebitabazimba.