Amawulire

President avumiride abawakanya eky’okujja ekomo ku myaka.

Ivan Ssenabulya

January 1st, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba.

Omukulembeze we gwanga YKM  atabukidde bannayuganda ebeeyita banasoma, banabyabufuzi, kko n’abanadiini abamu abakukuta n’abagwira bagambye nti bandiba nga baagala kutta democracy ali mu uganda.

Bweyabadde ayogerako eri egwanga akawungezi akajjo, President yagambye nti democracy yye nebanne gwebalwaniriira agamba nti obuyinza buli mumikono gyabanna- uganda, kale nga abalowooza ku komo ku bisanja, ekomo ku myaka n’ebirara beenonyeza byabwe.

Ono alabudde banna- Uganda okwewala abawakanya edembe ly’abanna-uganda ely’okwerondera abantu bebaagala, n’agamba nti bano bakolagana n’amawanga amagwira okutabangula uganda ebukadde mu mirembe, kale nga bino tagenda kubikiriza.