Amawulire

Polisi egaanye abakyala ba FDC okwekalakasa

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

By Damali Mukhaye.

Ssabapolice we gwanga Martin Okoth Ochola aliko ebaluwa gy’awandiikidde abakyala ababade baagala okwekalakaasa  olwettemu erisuse mu gwanga nga agamba nti kino tekigenda kusoboka bagire nga balinda.

Kinajukirwa nti abakyala bano nga bakulembedwamu ekiwayi ky’abakyala ekya FDC baali bawandiikira police nga baagala ebakuume nga bekalakaasa mu mirembe nga 30th June 2018.

kati bano Ochola abagambye nti kyebasaba tekigenda kusobola, balinde okutuuusa nga polisi ebakiriizza.

Wabula bwetwogedeko nayogerera ekiwayi kino Sarah Eperu  agambye nti entekateeka zaabwe ez’okwekalakasa zikyagenda mu maaso.