Amawulire

Polisi ayimbudde omubaka Betty Nambooze.

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye.

Kyadaaki police  eyimbudde omubaka Betty Nambooze ku kakalu ka polisi  agende ebuyindi okujanjabibwa, nga ono aludde nga akuumirwa mu dwaliro lye kiruddu.

Kinajukirwa nti ensonga za Nambooze okutabuka kyadirira police okumukwata nemuggalira e Naggala, kyoka embeera neyongera okwononeka najulirwa okutwalibwa e India, wabula police negaana.

Kati enaku  biri  emabaga akakiiko katekebwawo okunonyereza ku bulwadde bwa Nambooze kaakasa nti  omukyala ono agwana kugenda india, kyoka era olunaku lweggulo police neyerema.

Kati twogedeko namyuka ayogerera police ye gwanga Patrick Onyango nakakasa nti Nambooze ayimbuddwa , era nga akadde konna wadembe okugendda e India afune obujanjabi nga bwabade ayagala.

Mukaseera kano atwaliddwa mu dwaliro lye Bugoloobi gyabagira nga afunira obujanjabi.