Amawulire

Poliisi yetaaga obuwumbi 121 okukuuma omuddumu gwámafuta ogwa EA

Poliisi yetaaga obuwumbi 121 okukuuma omuddumu gwámafuta ogwa EA

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi ya Uganda enoonya obuwumbi bwa Shs121 okukuuma payipu y’omuddumu gwámafuta ezimbibwa okuva e Hoima okutuuka e Mutukula.

Bino byogeddwa Aggrey Wunyi, amyuka omuwandiisi mu kitongole kya Uganda Police mu lukiiko olutudde wakati w’abakungu ba Poliisi ab’oku ntikko n’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’okwerinda n’ensonga z’omunda okwekenneenya embalirira y’abwe eya 2023/2024.

Wabula okusobola okutukiriza omulimu guno, amumyuka omuddumizi wa Poliisi, Geoffrey Katsigazi ategeezezza nti waliwo obwetaavu bwa Poliisi okuwandiika abakozi 40,000 okusobola okutuukiriza omugerageranyo gwa poliisi ogwalagirwa ogwa 1:500 kubanga mu kiseera kino, omugerageranyo guno guyimiridde ku 1:800

Akinoganyiza nti Poliisi erina ekizibu kya bakozi abatono enyo ekibakalubiriza okutukiriza obuvunanyizibwa bwabwe.