Amawulire

Poliisi yenyodde nabeekalakaasi ku Bbeeyi yébintu

Poliisi yenyodde nabeekalakaasi ku Bbeeyi yébintu

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Abubaker Kirunda,

Poliisi eriko bekutte ku kwekalakaasa okukolebwa mugombolola ye Kawempe nga bannauganda bawakanya okwekanama kwe beeyi ye bintu mu ggwanga.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti abasajja babwe basobodde okulemesa okwekalakaasa okubadde kutegekebwa e Kawempe.

Olunaku lweggulo amyuka ssabapoliisi  Maj Gen Tumusiime Katsigazi, yalabudde bannauganda okwewala okwenyigira mu kwekalakaasa nga bawakanya ebeeyi ye bintu.

Kino kyadiridde abantu abatanaba kutegerekeka okulangirira nga bayita ku mikutu egyomutimbagano nti ekibuga kampala si kyakubaamu muntu okuva leero okutuusa ku lunaku olwokusatu wakati mu kulaga obutali bumativu ku miwendo gye bintu egiri waggulu eno.

Ate mudisitulikiti ye Jinja badereva ba taxi batadde wansi ebikola nga bawakanya ebeeyi ya mafuta esusse ogwobulamuzi.

Okwekalakaasa okutandise enkya ya leero kulesse abasabaze nga basobeddwa oluvanyuma lwokubulwa entambula

Abavubuka abefujjo nabo beyambisiza omukisa guno okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu ku mbeera nga bweri mu ggwanga wabula bano poliisi ebanukudde na tiya gaasi