Amawulire

Poliisi yekyakulembedde mu kutulugunya banamawulire

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Poliisi ekyenyweredde mu kiffo ekisooka mu bitongole ebityoboola edembe lyabanamwulire, okusinziira ku alaipoota ekwata ku dembe lyobuntu eya 2017 aba Human Rights Network for Journalists gyebafulumizza.

Eno ye alipoota eyomulundi ogwomwenda, ngeraze nti mu mwaka 2017 emisango 113 egyokutulugunya banamwulire gyegyawandisibwa mu bitabo, nga 83 kwejo poliisi yeyatulugunya banamwulire.

Ate 6 gyakolebwa akakiiko akebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission ate 4 gyali gyekuusa ku ssiga eddamuzi.

Bwabadde afulumya alaipoota eno, Executive Director wa HRNJ Robert Ssempala agambye nti kimalamu amaanyi kuba poliisi tekyukaako, egenze mu maaso nokutulugunya banamwulire mwaka ku mwaka.

Wabula agambye wabaddewo okukendeera kubanga mu mwaka ogwayita 2016 gyali emisango 135 gyebafuna.

Ku mukolo guno, ssentebbe owakakiiko ke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission Haji Meddi Kaggwa yeyamye nti bakugenda mu maaso okulwanyisa ebikolwa byonna ebinyigiriza banamwulire nokubajjako eddembe lyabwe.

Wabula mu bbanga erye myaka ejiyise poliisi ezenga ejungulula alipoota zino.