Amawulire

Poliisi yakusigala nga ekugira enkungana ezitagoberedde mateeka

Poliisi yakusigala nga ekugira enkungana ezitagoberedde mateeka

Ivan Ssenabulya

March 20th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Poliisi eyogedde kunsala ya kkooti okusazaamu ebiragiro ebiri mu tteeka erifuga enkungaana mu ggwanga erya Public Order Management Act (POMA), eryayisibwa palamenti mu 2013, eriwera okwekalakaasa n’enkiiko z’olukale ezitakkirizibwa babyakwerinda.

Kkooti yatuuse ku kusalawo kuno mu kuwuliriza omusango oguvunaanibwa pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi eky’oludda oluvuganya ekya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, aka Bobi Wine, olw’okwetaba mu kwekalakaasa nga bawakanya emisolo emingi mu 2018.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omwogezi wa Poliisi Fred Enanga abikudde ekyama nti bagenda kwongera okussa mu nkola akawayiro namba 5 mu tteeka erifuga enkungana okulemesa okwekalakaasa okumenya amateeka.

Enanga agamba nti abantu abateekateeka okwekalakaasa ne bwekiba mu mirembe nga tebategeezeza ku poliisi baba baziza omusango.

Akawiyiro namba 5 mu teeka lino kagamba nti abategesi benkungana ezolukale nókukumba balina okutegeeza ku poliisi ennaku 3 emabega.