Amawulire

Poliisi yakukozesa Embwa ezikonga Olusi ku Nile Bridge e Jinja

Poliisi yakukozesa Embwa ezikonga Olusi ku Nile Bridge e Jinja

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2023

No comments

Bya Denis Edema,

Poliisi mu kibuga Jinja eyiye embwa eziwunyiriza okuzuula bbomu ku lutindo lw’omugga Nile.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kiira, James Mubi agamba nti bafunye embwa bbiri eziwunyiriza nga bayita mu Richard Okullu omuduumizi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira okutumbula okunoonyereza kwabwe naddala mu bitundu by’e Bugembe, Mafubira, Namulesa, Buwekula, ne Wanyange.

Annyonnyola nti embwa zino eziwunyiriza zigenda kukozesebwa wamu ne kkamera za CCTV n’emmotoka ezilawuna.

Bano okuvaayo bwebati kiddiridde gavumenti ya Bungereza okulabula gavumenti ya Uganda nga bwe waliwo obutujju obugenda okukolebwa mu ggwanga lino.

Nólunaku lweggulo poliisi yaweze abatambuza ebigere okukozesa olutindo luno mu budde bwékiro oluvannyuma lw’abantu basatu okukwatibwa nga basitudde emmundu mu nsawo

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto, emabegako yategeezezza nti abantu basatu okuli n’omuserikale w’ekitongole ekivunanyizibwa kunvuba embi baakwatibbwa ku lutindo lwelumu nga balina emmundu mu nsawo ku lwokuna lwa ssabiiti ewedde.

Butoto agamba nti abasatu bano babadde bagezaako okusomoka okugenda mu kibuga Jinja okuva e Njeru mu Disitulikiti y’e Buikwe.