Amawulire

Poliisi eyodde abamenyi b’amateeka 160 e Wakiso

Poliisi eyodde abamenyi b’amateeka 160 e Wakiso

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2022

No comments

Bya Nalwooga Juliet,

Abateeberezebwa okuba abakulembeze b’ebibinja by’abamenyi b’amateeka abasoba mu 160 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwamu ekitongole ekikessi ekya Joint intelligence ekikoleddwa mu bitundu okuli Nakuwadde, kireka Bulenga – kyalo Kikaya ne ku kyalo Gogonya Nakabugo parish mu disitulikiti y’e Wakiso olwaleero.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano agamba nti ekikwekweto kino kyavudde ku bantu okukaaba oluvannyuma lw’obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Abakwatiddwa be bazuuliddwamu ebiragalalagala mu kiseera kino basibiddwa ku poliisi ez’enjawulo mu kitundu kya Wakiso nga bwe balindirira okuvunaanibwa.