Amawulire

poliisi eyodde 100

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

 

Onyango

E wandegeya poliisi eyodde abantu 100, nga bano kigambibwa nti bebabadde benyigira mu kutigomya ebitundu bye wandegeya kko n’emirirano. Bano baakukunuddwa mu bitundu nga kikoni, Mulago mukadde, Katanga, Makerere n’ebirara.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano Patrick onyango, ategezezza nti bano baasangidwa n’ebikozesebwa okuli enyondo amajambiya, obutayimbwa kko n’ebirala .

Ono agamba nti mukaseera kano okusengejja kugenda mu maaso, wabula nga kizuulidwa nga abasinga baabadde bali ku kakalu ka poliisi kko ne kkooti wabula nga bebulankanya , ate nebongera okuzza emisango.