Amawulire

Poliisi Eyiriddwa mu district ye Pakwach Nambooze Gyasubirwa

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi eyimirizza ekibinja kyabanna DP ababadde bakulembeddwamu omubaka wa munisipaali eye Masaka Mathias Mpuuga ababadde batumiddwa omubaka wa munisipaali eye Mukono Betty Nambooze okumukirira ku mukolo gwabayizi bekibiina kya ‘Nkobazabogo ’ ku ttendekero lya Uganda College of commerce mu district ye Pakwach ogwokuwaayo obukulembezze.

Bano babayimirizza e Nakasongola obutabaganya kweyongerayo era nebavuga okudda e Kampala nga bawerekerwako poliisi.

Omogwezi wa poliisi mu bitundu bya West Nile, Josephine Angutia ategezezza nti bayitiddwa abatwala essomero lino okukuuma obutebenkevu, ku mukolo ogugenda maaso obulungi kubanga bayizi baali bayise omubaka Nambooze nga tebebuzizza ku bakulu ba ssomero.

Atubuliidde nti omukolo guno gugenda maaso eranga minister wabavubuka nemizannyo mu Bwakabaka bwa Buganda Owekitiibwa Henry Ssekabembe ye mugenyi omukulu.

Wabula tukitegeddeko nti aba Nkoba Nkobaza Mbogo bayita omubaka Nambooze ne bbaluwa eyatekebwako omukono gwa’twala ettendekero lino Deus Mutesigyensi.

Nambooze mu kaseera kano kigambibwa mulwadde oluvanyuma lwolutalo lwebalimu ne Poliisi e Masaka wiiki ewedde, nga tekinakakasibwa oba ddala agenda mu district ye Pakwach.

Omubaka Nambooze ategezezza Dembe FM nti bino byonna ssenkaggale wa DP Mao yabiri emabega, ngagamba yekobaana ne poliisi okubalemesa okwger nabawagizi bekibiina.

“Katumale okuva mu byobulwadde, tulyoke tukomewo tufafagane ne poliisi” omubaka Nambooze bwatyo bwaweze.