Amawulire

Poliisi eyimirizza Lukwago

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

 

Poliisi yekyusirizza mu kiti nga embazzi negaana loodi meeya Erias Lukwgo okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olutongoza kampeyini ze mu katale ke Nakasero.

 

Poliisi yasooka kukkiriza Lukwago okukuba olukungaana luno wabula kati omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga olukungaana lwa Lukwago bwelugya okutataganya emirimu mu kibuga wakati.

 

Onyango agamba Lukwago kati anonye ekifo ekirala w’agenda okukuba olukungaana.

 

Wabula Lukwago ategezezza  nga bw’akyalinda ekinava eri ekibinja kye ekikolagana ne poliisi okulaba nga olukungaana luno lutambula bulungi.