Amawulire

Poliisi eyimbudde aba Taxi

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

taxi robbers

Poliisi eyimbudde abantu bonna abakwatiddwa mu kwekalakaasa kwa ba taxi okwabaddewo olunaku lwajjo

Bino byebimu ku byakanyiziddwaako mu kafubo akaavuddeko aba taxi okusazaamu akeediimo kaabwe

Abantu bano abasoba mu 40 bonna bayimbuddwa  nga babadde baggaliddwa ku CPS, Kabalagala, ne Old Kampala

Atwala poliisi ya CPS, Henry Kintu agambye nti wabula tekitegeeza nti okunonyereza ku misango gyaabwe kuwedde

Bbo aba taxi batandise kawefube w’okwelondamu abantu 10 abagenda okutuula ku kakiiko akananoonyereza ku mivuyo mu by’entambula

Akulira ba dereeva, Mustafa Mayamba agamba nti kyebagaala okussaako essira byebizibu ebiruma ba dereeva ebiyitirivu