Amawulire

Poliisi eweze Kamera ne Bijaketi e Namugongo

Poliisi eweze Kamera ne Bijaketi e Namugongo

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ngábalamazi okuva ebule ne bweya bakyagenda mu maaso nokwekulumulula nga bolekera ebiggwa bya bajjulizi e Namugongo okwetaba ku bijjaguzo byomulundi guno ebinabeerawo nga 3rd june ku lwomukaaga luno, poliisi eweze kamera ne bijaketi ebinene.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, omwogezi wa KMP, Patrick Onyango agamba nti kino kigenderedwamu okulaba nti abalamazi balina eby’okwerinda ebinywevu.

Ono agambye nti abalamazi okuva e bweru ne bannauganda tebagenda kukkirizibwa kujja na kamera oba ebijaketi wabula nga bannamawulire bakukkirizibwa okujja nebikola byabwe naye nga bakusooka kwekebejebwa abebyokwerinda

Ono agamba nti ebijaketi naddala ebiriko ensalo eziwera abatujju babyeyambisa nyo okuteekamu ebissi naye aggumiza abalamazi nti poliisi erwanyisa obutujju munfo yatuuse dda.

Mungeri yemu Poliisi egaanye abalina bizinensi okuliraana ebiggwa bya bajjulizi e Namugongo okulekanya ebiddongo okusuka ssaawa 6 ezekiro.

Onyango agamba nti bategezezza abantu bonna abakola bizinensi okwetooloola ebiggwa okukomya okukuba emiziki mu ttumbi.

Agamba nti kino kigendereddwamu kukendeeza ku bikeekaana ekiro okusobola okuwa abalamazi embeera ennyungi eyokuwummuliramu.

Mungeri yeemu agamba nti poliisi eragidde bannannyini Wooteeri ne loogi ezeetoolodde ebiggwa okuwandiisa abantu bonna abagenda okusulamu mu biseera by’okujaguza okulaba nga balina ebibakwatako byonna singa wabaawo embeera yonna ey’amangu eyinza okuteeka obukuumi bw’abalamazi mu matigga.

Olunaku lweggulo abalamazi okuva e jinja mu kibinja kya bantu 6000 batuuse ku biggwa era nga bebategesi bomulundi guno.