Amawulire
Poliisi eturemeseza enkungana-FDC
Bya Damali Mukhaye, Ekibiina kyebyobufuzi ekya FDC kiyimiriza kawefube wakyo ow’okutalaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bebuuza ku balonzi olw’obukambwe bwa poliisi obuyitiridde.
Mu ssabiiti ewedde FDC yali mu bitundu bya West Nile wabula poliisi ne balemesa okukuba enkungana
Ngayogerako ne ddembe fm senkagale w’ekibiina kya FDC Patrick Amuriat atutegezeza nti basazeewo babigyemu enta oluvanyuma lwa poliisi okubafuukira eliggwa ly’ettovu nga buli gye bagenda tebaganya kukuba nkungana
Ayongedeko nti kati baziyimiriza nga bwe bayiiya kye bazaako.