Amawulire

Poliisi etabukidde aba TAPSCOM

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Taxi drivers strike

Poliisi erangiridde nti akakiiko ka TAPSCOM nga kano keekaddukanya omulimu gwa Taxi ku lwa KCCA kaliwo mu bukyaamu

Kiddiridde okusisinkana abagoba ba taxi ababadde beemulugunAbagoba ba taxi balumbye poliisi ya CPS nga bemulugunya ku kakiiko kya TAPSCOM

akulira aba Taxi Mustapha Mayambala ategeezezza nti batuntuzibwa aba TAPSCOm bano nga babasaba ensimbi z’okutikka emmotoka zaabwe kyokka nga zino zaawerebwa

Akulira poliisi ya CPS, James Ruhweza agambye nti kati webanasanga aba TAPSCOM bajja kukwata bakwate kubanga baliwo mu bukyaamu

Ruhweza agamba nti mu lukiiko lwebatuulamu, bakkiriziganya nti akakiiko kano kayimirizibwe kale nga kiba kikyaamu okukola

Yye akulira TAPSCOM Yasin Sematimba agamba nti bano basaaga kubanga bbo baliwo mu butuufu