Amawulire

poliisi Etabudde Okuziika

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

 

E mubende abakungubazi ababadde bagenda okuziika abafu 2 okuva mu nyumba emu babunye emiwabo oluvanyuma lwa poliisi ekkakanya obujagalalo okuyiibwa mu kitundu ekyo.

Bino bibadde ku kyalo Momo era emirambo bagisudde eri nebeyokya ensiko nga ekyalo kusigaddeko baana bato.

Akulira ebikwekweto e Mubende Afande Dan Ampadde  ategegezezza nti babadde bagala kukwata abamu ku bakungubazi abakidde mutuuze munabwe nebamutematema nga bamulumiriza okuloga mutuuze munabwe ow’olubuto nafa n’omwana we.