Amawulire
Poliisi erungamiza ku byentambula mu kuziika Ssabasumba Lwanga
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi eyisiza ebiragiro ebyokunguudo ebigenda okugobererwa mu kwetegkera okuziika abadde ssabasumba we ssaza ekkulu erya Kampala, Cyprian Lwanga’s okugenda okubaawo olunaku lwenkya ku lutiko e Rubaga mu Kampala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti abebidduka bakukyusibwa ekkubo nga batuuse ku Nabunya junction,e Kabusu ku round about ne ku ddwaliro e Rubaga ku luguudo lwa Mutesa.
Oluguudo olugenda ku lutiko e Rubaga silwakukkirizibwako babidduka abatalina sitiika era abalina sitiika bakuwetera ku roundabout e Kabuusu badde Stensera Road ne Mugwanya Road okuyita ku Mutesa Road
Abagenyi abakulu bakutuuka kwekelezia e Rubaga nga bayita ku nkulungo ye Kabusu okudda ku Stensera Road bapakinge emotoka zaabwe mu lugya lwa Centenary Bank, Uganda Martyrs University, Social Centre nga bwayongera okunyonyola.