Amawulire

Poliisi eriko Omukessi wa ADF gwegombyemu obwala

Poliisi eriko Omukessi wa ADF gwegombyemu obwala

Ivan Ssenabulya

October 30th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi Kitagwenda, eriko omusajja gwegombyemu obwala nga ateberezebwa okuba omukesi wa bayekera ba ADF.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, agambye nti omukwate agibwa mu bitundu bye Kafunda, mu municipaali ye Ibanda yawambibwa abayekera ba ADF ne banne abalala 5 mu 2015 ku mugga Nyamwamba, e Kasese, ne babatwala mu nsozi z Rwenzori okutuuka mu DRC, gyebabatendekera.

Mungeri yemu poliisi mu kampala eriko omuvubuka gwegalidde nga naye muyekera wa ADF era asangibwa na masasi

Ono ategerekese nga Ransur Komaketch aka Kadogo owemyaka 18, abuulidde abasilikale nti yayingizibwa mu bikolwa ebyekiyekera nga wa myaka 7 wabula yasobola okudduka mu nkambi yabwe e Congo nakomawo e Uganda.

Okuva mu ssabiiti ewedde gavt yalangirira okuwa ekisonyiwo eri abayekera abanaaba bewadeyo mu bobuyinza.