Amawulire

Poliisi eremeseza okusaba kwábali ku ludda oluvuganya

Poliisi eremeseza okusaba kwábali ku ludda oluvuganya

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga, 

Poliisi mu Kampala eremesezza okusaba okumalako omwaka okubadde kutegekeddwa aboludda oluvuganya gavt bannakyukyuka aba United Forces of Change e Nsambya ku sharing hall.

Omwogezi wa poliisi mu KMP, Patrick Onyango agamba nti okusaba kuno yadde bannyikwo babadde bazze wabula poliisi teyakukkiriza

Olw’okutiisibwatiisibwa kw’obutujju mu ggwanga, ebitongole by’ebyokwerinda byasalawo nti emikolo gyonna egy’olukale mu ggwanga girina okukkirizibwa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okusinziira ku tteeka lya POMA.

Poliisi erabudde bannauganda abatanava waka obutagezako kugenda mu kusaba kuno.

Okusaba kuno kubadde kutegekeddwa ebibiina byobufuzi ebyenjawulo nga bikulembedwamu eyaliko senkagale wa FDC Rtd Col Dr Kiiza Besiggye nomuk wa NUP

Onyango awadde bannabyabufuzi bano amagezi okugenda mu makanisa mu kusaba okwategekeddwa bannaddiini mu kusaba okumalako omwaka olunaku lwenkya ensonga zabwe bazigambe katonda nga basinziira eyo.

Okusinzira ku Besigye abalwanirira enkyukyuka mu by’’obukulembeze wano mu ggwanga mu mwaka guno bayise mu kusoomozebwa okutagambika kale nga baategese okusaba kuno okwegayirira katonda abateeremu obwangu muntekateeka zabwe omwaka ogujja.