Amawulire

Poliisi erabudde abategeka okwekalakaasa kulwómubaka Ssewanyana

Poliisi erabudde abategeka okwekalakaasa kulwómubaka Ssewanyana

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi erabudde banakampala abateekateeka okwekalakaasa kubyokukwatibwa kwomubaka wa Makindye West mu palamenti, Allan Sewanyana.

Kino kidiridde Ssewanyana okudamu okukwatibwa oluvanyuma lwa kuyimbulwa mu komera e Kigo sabiiti ewedde.

Amaggye gavaayo negakkasa okukwatibwa Ssewanyana era nebatangaza nti tebawamba muwambe wabula alina emisango emirala obutujju nokukuma omuliro mu bantu egyamukwasisa.

Mu wkogerako ne bannamawulire mu Kampala omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bafuna okubagulizibwako nti waliwo abantu abategeka okwekalakaasa nga bawakanya okusibwa kwa Ssewanyana.

Ono asabye abantu okusigala nga bakakamu kuba bwebanamala okumubuuza bye beetaaga okumanya wakuyimbulwa.