Amawulire

Poliisi erabudde abagala okutabangula okulonda

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ekakasizza abantu ku butebenkevu mu kulonda kwe byalo okugenda aokubaawo olunnaku lwenkya okwetoola egwanga.

Bino webijidde nga waliwo okutya ntin okulonda kwandibaamu emivuyo, kubanga okulonda tekuube kwa kyama anti kwa kusimba mu migongo.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku CPS mu Kampala, omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima agambye nti bakuyiwa basajja baabwe mu biffo ebyenjawulo ebironderwamu.

Wabula ono agambye nti balina amawulire amekusifu nti waliwo abagala okutabangula aokulonda nokutisatiisa abantu, nalabula nti gwebanakwatako wakuvunanwa.