Amawulire

Poliisi enyonyodde ku kuttibwa kwa Sheikh Abbas Kirevu

Poliisi enyonyodde ku kuttibwa kwa Sheikh Abbas Kirevu

Ivan Ssenabulya

November 19th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi enyonyodde ku nfa ya Sheikh Muhammad Abbas Kirevu, gwebakubidde amasasai mu kitundu kye Nsangi, mu disitulikiti ye Wakiso.

Kino bagambye nti kyabaddewo wakati mu kulwanagana, okwabaddewo ngagaana abebyokwerinda okumukwata.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti Sheikh Kirevu basubira yoomu ku babaddenga bakwasaganya emirimu gya ADF mu Ugand nokuyingiza abantu ba wano mu buyekera.

Kisubirwa nti yoomu ku bavunanyizibwa ku kubwatuka kwa bbomu, ezemirundi 2 okwabadde mu Kampala ku lunnaku Lwokubiri.

Poliisi era egamba nti ebakanye nomuyiggo ku Sheikh Sulaiman Nsubuga, omutuuze we Kajjansi ku Entebbe Road era ku byekuusa ku misango gino.

Enanga agambye nti bakutte abantu 21 abasubirwa okubeera abatujju ba memba ba ADF, bajiddwa mu bitundu bye Mpelerwe mu Kampala, Lweza mu Wakiso, Kasana-Luwero nabamu bajiddwa mu disitulikiti ye Ntoroko.