Amawulire

Poliisi ekutte ow’emyaka 28 olw’okusobya kuw’omwaka gumu

Poliisi ekutte ow’emyaka 28 olw’okusobya kuw’omwaka gumu

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu disitulikiti ye Bugweri egalidde omusajja wamyaka 28 ku misano gyokusobya ku mwana owomwaka gumu.

Omukwate mutuuze mu tawuni kanso ye Idudi nga kigambibwa nti omwana yamujje mu maka gabazadde be, namukyama mu kiyumba ekibadde kitnaggwa namusobyako.

Maama womwana ono agamba nti yamukutte lubona ngatuzizza muwala we ku kijjulo kya lusifa, kwekuyitirawo poliisi eyamukutte.

Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Bugweri nga ye Rogers Twesigye akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono.

Agambye nti bagenda kwongera okunonyereza ku misango egyamuguddwako.