Amawulire

Poliisi ekutte owa boda boda n’omulambo mu kkutiya

Poliisi ekutte owa boda boda n’omulambo mu kkutiya

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2022

No comments

PBya Juliet Nalwooga

oliisi e Kawempe eriko emisango gyobutemu gyegudde ku mukuumi mu kitongole kyobwananyini.

Gideon Nabasa, ngakola nekitongole kya Afrisafe Guard Company bamusanze nekikutiya, nga kirimu omulambo ngagutambuliza ku pikipiki.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti abasirikale ababadde balawuna bamuyimiririzza e Kazo Lugoba mu bitundu bye Nabweru mu Wakiso.

Agambye nti baamwekengedde kwebyo byebadadeyetisse.

Kati omulambo gutwliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.