Amawulire

Poliisi ekutte omusmba lwakutikka baana mbuto

Poliisi ekutte omusmba lwakutikka baana mbuto

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mbale baliko omusumba gwebagalidde ku misango gyokusobya ku baaana abatanetuuka.

Omukwate musumba wa kkanisa yabalokole, ku kyalo Waninda mu gombolola ye Bumasikye nga kigambibwa nti yegadanze nabawala owemyaka 15 ne 17 nabatikka n’embuto.

Abaana bano bebabagulizza ku kitaawe, eyategezezza poliisi nemukwata.

Rogers Taitika, omwogezi wa poliisi mu kitundi Elgon agambye nti bakebedde abaana bano nebabazuula nga balina embuto.

 

Okunonyereza kugenda mu maaso.