Amawulire

Poliisi ekutte Omusawo lwa kusobya ku mulwaddewe

Poliisi ekutte Omusawo lwa kusobya ku mulwaddewe

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Poliisi mu disitulikiti eye Mbale eriko omusawo atemera mu gyobukulu 25 gyetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku mulwaddewe owemyaka 15.

Omukwate ye kigambibwa nti omusango yaguddiza ku ddwaliro ku kyalo Bujoroto mu Northern city Division.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Taitika, omukwate omusango yaguza nga 21st May 2020, nadduka wabula bamukwatidde mu Bududa district.

Mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi ye Nakaloke e Mbale City, ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.