Amawulire

Poliisi ekutte omusajja nakakebe ka tiyaggaasi

Poliisi ekutte omusajja nakakebe ka tiyaggaasi

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Gulu, baliko omusajja gwebagalidde nga yasangiddwa nebyokulwanyisa okubadde akakebe ka teargas.

Omukwate mutuuze ku kyalo Agwee, mu Pece Laroo Division, nga bwebamukunyizza agambye nti naye yakalonda mu kasasiro mu kitundu kye Pece Lukung.

Okumukwata kyadiridde akakebe kano okubwatuka, wabulanga tekalinamuntu yenna gwegakosezza.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Aswa, David Ongom agambye nti omusajja ono waluba yali yalwalako obwongo.

Agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.