Amawulire

Poliisi ekutte Omusajja agambibwa okupangisa batemu batte munne

Poliisi ekutte Omusajja agambibwa okupangisa batemu batte munne

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okupangisa abatemu batte musuubuzi munne e Luwero.

Akwatiddwa ye Swaibu Ssemambo ow’e Kasana e Luweero nga kigambibwa nti abaddeko baaguze okumuttira munne Moses Kizito bwe bali mu business ya Haadiweya.

Kigambibwa nti bano bombi, baliraanaganye mu buzinensi ku kyalo Kakolo zone e Kasana mu Luweero era nga kirowoozebwa nti Kizito atunda nnyo okusinga Ssemambo ng’eno y’ensonga lwaki yayagadde omuggye mu bulamu bw’ensi eno.

Kitegeezeddwa nti Ssemambo yatuukiridde Stephen Baguma amufunire abantu abayinza okumuttira Kizito era Baguma naye kwe kutuukirira omusirikale mu nkambi y’amagye e Makindye Abudal Atiti eyabasabye obukadde 13 okuggusa omulimu.

Omwogezi wa poliisi e Luweero Sam Twineamazima agambye nti , omujaasi yatemezza ku Kizito ku nteekateeka eno, era ne batemya  ku poliisi eyasobodde okukwata abantu  bano bombi Swaibu Ssemambo ne Stephen Baguma ng’okunoonyereza bwe kukolebwa.