Amawulire

Poliisi ekutte omukyala abadde akukusa omwana

Poliisi ekutte omukyala abadde akukusa omwana

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi e Wandegeya ekutte omukyala Florence Namugoya,34, omutuuze w’e Makerere Kavule ku bigambibwa nti yakukusa omwana ow’emyaka 16.

Poliisi egamba nti ono, yali mu lukwe ne nnyina w’omwana era yamutambuza okutuuka mu ppaaka ya bbaasi e Namayiba n’ekigendererwa eky’okumutambuza mu ngeri emenya amateeka okutuuka e Nairobi mu Kenya okuva ku kyalo Makundu, mu ssaza ly’e Bugweri mu disitulikiti y’e Iganga,

Poliisi olwafuna amawulire gano bategeeza ku kampuni ya baasi omwana mweyali era nebamuzza ewaabwe.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga asabye abantu babulijjo okukuuma abaana bawe okuva eri ebikolwa ebyokukukusibwa.