Amawulire

Olukiiko olufuzi e Rakai balujeemu obwesige

Olukiiko olufuzi e Rakai balujeemu obwesige

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2022

No comments

Bya Malikh Fahad

Olukiiko lwa disitulikiti ye Rakai lugobye, olukiiko olufuzi oba executive olwa kyebayise, okukola ebikontana nokusalawo kwa kanso.

Bebajjeemu obwesige kuliko Chris Jumba, Patrick Niwabine Karakwende, Esther Mugalula, Derrick Tusubira nabalala.

Bano kyadiridde okulemererwa okunyonyola ensasanya yensimbi obukadde 327 zebakozesa mu 2021 ezaali ezokulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Mwesigwa Wilson, kansala wa tawuni kanso ye Kibale yoomu ku baakulembeddemu ekiteeso ekisatulula olukiiko olufuzi ngagamba nti baayisa embalirira eye nyongereza, mu mankwetu awataali wabweruwa kanso.

Bano bagamba nti baliko emiimu gyebabaddenga bakola, mu kimpukumpuku.

Wabula abolukiiko olufuzi, olukulemberw ssentebbe wa disitulikiti, bagamba nti ekiteeso kino kibaddemu ebigendererwa ebikyamu, olwenjawukana mu ndowoooza zebyobufuzi.