Amawulire
Poliisi ekutte maama ne muwala we abasse taata
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu distulikiti ye Lwengo eriko abantu 3 begalidde, okuli maama ne muwala we nha kigambibwa nti betabye mu kutta nnyinimu.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kyetume mu distulikiti ye Lwengo omukazi ategerekese nga Kobusingye Sophia, bweyekobaanye nomulaalo ne muwala we okutta bba Ahmed Kasumba.
Abalala abkwatiddwa abakwakatiddwa ye Fazira Namatovu nomulaalo ategerekeseeko erya Muzeyi.
Okunonyereza kwa poliisi okusooka kulaga nti abafumbo bano bafunamu obutakanya, oluvanyuma lwomusajja okuwasa omukazi omulala.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Muhamad Nsubuga avumiridde ettemu lino, wabula agambye nti okunonyereza kutandise.