Amawulire

Poliisi ekutte maama eyayokya muwala we’ngalo

Poliisi ekutte maama eyayokya muwala we’ngalo

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Napak eriko maama, wamyaka 31 gwekutte okuva ku kyalo Lokitelaemun mu gombolola ye Matany olwokukkira muwala we namwokya engalo.

Omwana gweyayokya ye Anna Modo nga kigambibwa nti yamwokya ngalo, bweyalya emmere gyatamugabidde.

Bino byaliwo nga 5 Okitobba wabula yaleka omwana natandika okuvunda engalo, ngabadde yamuggalira mu nnyumba ngamuwa nsigo za simusimu zokka.

Mike Longole, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Mt Moroto agambye nti abatuuze bebabagulizza ku poliisi nebagenda okununula omwana ono.

Agamby nti embeera gyebamuanzeemu ebadde mb nnyo naye bamututte mu ddwaliro.