Amawulire

Poliisi ekutte babiri ku kibinja ky’abateberezebwa okukusa enjaga n’abantu e Kabalagala

Poliisi ekutte babiri ku kibinja ky’abateberezebwa okukusa enjaga n’abantu e Kabalagala

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga. Poliisi e Kabalagala mu Kampala eriko ekibinja ky’abagambibwa okubeera abamenyi b’amateeka kyesattuludde bano nga babadde befudde ba kafulu okukusa abantu  n’ebilagalalagala.

Mu bano mubaddemu bannansi b’eggwanga lya Nigeria 2 bekutte era nebaggulako n’emisango egy’okukusa abantu n’ebilagalalagala.

Mu bakwatiddwa kuliko Chekwuebuka William ne Azubuikwe Kingsley Chika nga n’ebiwandiiko byabwe ebibakkiriza okubeera kuno bisangiddwa nga byayitako.

Wakati mu kwaza gyebasula, Poliisi esobodde okuzuula emisokoto gy’enjaga, ebikozesebwa mu kugisiba, amasimu ne kalonda omulala mungi.

Luke Owoyesigyire, amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emililaano agambye nti bano bakkiriza emisango  era nebategeeza ng’abantu bebabadde bakukusa bwebabadde babatwala mu mawanga okuli Buyindi, Kenya, Qatar, ne Thailand.