Amawulire

Poliisi ekutte asse Kojjaawe lwa shs 2000

Poliisi ekutte asse Kojjaawe lwa shs 2000

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi mu Disitulikiti y’e Kole eriko omusajja agambibwa okukuba kojjaawe n’amutta ku ssente ezisoba mu shs2000 ze yali amuwadde okuzimba ennyumba ey’essubi.

Patrick Okema omwogezi wa poliisi mu North Kyoga agamba nti omukwate agambibwa okutta , Jimmy Otim omutuuze ku kyalo Abiropo, ekiri mugombolola ye Ayer mu Disitulikiti y’e Kole.

Abatuuze beekozeemu omulimo ne bawalawala omutemu okutuuka ku ya Alemi Police Post e Kole n’omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lya Lira Regional Referral Hospital okwekebejjebwa.