Amawulire

Poliisi ekutte abantu abalala 3 ku bulumbaganyi bwé Kasese

Poliisi ekutte abantu abalala 3 ku bulumbaganyi bwé Kasese

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2023

No comments

Bya Joel Kaguta,

Poliisi e Kasese ekutte abakungu basatu ab’oku ntikko mu by’enjigiriza okuyambako poliisi mu kunoonyereza ku bulumbaganyi bw’abayeekera ba ADF bwebakola ku ssomero lya Mpondwe-Lhubiriha Secondary School ne mufiiramu abantu 43.

Omwogezi wa Poliisi mu Uganda, Fred Enanga yakakasizza okukwatibwa kwa bano olunaku lweggulo.

Yagambye nti mu kiseera kino bali mu kaduukulu ka poliisi ku misango gy’okuyambako abayeekera ba ADF mu Disitulikiti y’e Kasese ekyavaako okulumba essomero lino.

Abakwatiddwa kuliko akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti, George Mayinja, Principle inspector of schools, Ernest Thabugha ne Harriet Masika kalondoozi wa masomero mu kitundu kya Bukonzo West.

Mu kiseera kino omuwendo gw’abaafiira mu bulumbaganyi guli 43 nga ku bano 37 bayizi ate abalala 6 be bantu b’omu kitundu.

Emirambo 17 ku 37 teginnaziikibwa oluvanyuma lwokwokyebwa ne gisiriira nga kati ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango kiri mu kukebera Ndaga butonde zabwe okuzuula aba famile.

Ku Mmande ya wiiki eno, poliisi yalangiridde nga bwe yakutte abantu 21 abateeberezebwa okukolagana n’abayeekera ba ADF mu bulumbaganyi buno. Kino kituusizza omuwendo gw’abakwatiddwa okutuuka ku 24.

Mu bakwatibbwa kuliko Dayirekita w’essomero lya Mpondwe-Lhubiriha Secondary School, Nelson Bulotemu n’akulira essomero lino, Raimon Muhindo.

Eggye lya Uganda People’s Defence Forces (UPDF) likyagenda mu maaso n’okuyigga abayeekera bano mu nsiko z’e Eastern Democratic Republic of Congo gyebakuba enkambi oluvannyuma lw’okufuumuulwa okuva mu bitundu by’e Rwenzori mu Uganda.