Amawulire

Poliisi ekutte abantu 5 lwakuzikula Mulambo

Poliisi ekutte abantu 5 lwakuzikula Mulambo

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi ekutte abantu bataano mu disitulikiti y’e Iganga nga bagambibwa okusimula omulambo okuva muntaana.

Bano abataano kigambibwa nti baagenze ku kyalo Bulubandi central B mugombolola ye Nakigo e Iganga nebasima omulambo gwa Zamina Kakaire eyaziikibwa ennaku nnya eziyise.

Omubaka wa gavt e Iganga Sadara Wandera, atubuulidde nti bano kigambibwa tebakkiriziganya na ba famire abalala abaasazeewo okuziika omugenzi mu buwangwa bw’Obusiraamu kyokka nga yali mukristu nga yaakafumbirwa omusajja omusiraamu.

Wandera agamba nti aba famire abalala bagamba nti baasalawo okuziika Kakaire mu buwangwa bw’Abasiraamu kubanga baaziise mu maka g’omugenzi eyali bba ate nga yali musiraamu.

Wandera agamba nti olukiiko olw’okutangaaza ku nsonga eno lwayitiddwa kyokka nga bwe lugenda mu maaso, bammemba abalala baabadde basima entaana okunona omulambo.

Ono avumiridde ekikolwa kino nagamba nti kimenya mateeka kubanga okusima omulambo kulina okuba n’ekiragiro kya kkooti.