Amawulire
Poliisi ekutte abadde abbira mu bbanka
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono eriko omusajja gwetasizza, ngono kigambibwa nti abaddenga ateega abantu ku banka nababbako ATM caada, oluvanyuma najjayo ssente zaabwe ku account.
Robert Musinguzi owemyaka 32 mutuuze we Fort portal, era poliisi egamba nti abaddenga atambulira mu mmotooka kiika kya Toyota Vitz namba UBB 220/V, ngabadde yakabba caada 19.
Kino kidiridde okubba Sadam Lugalukiye ku DFCU e Mukono, bweyefudde amuyambako wabula namutebuka nabaguyliza kuba boda boda ababadde okumpi.
Omusajja ononaye akirizza nti abaddenga abba abantu mungeri eno, okumala ebbanga
Atwala poliisi ye Mukono Masiko Kamomo akakasiza okukwatibwa kwono, agabye nti bagenda kumuggulako omusango gwobubbi.