Amawulire

Poliisi ekutte 5 abekuusa ku bulumbaganyi bwe Nakaseke

Poliisi ekutte 5 abekuusa ku bulumbaganyi bwe Nakaseke

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu kitundu kya Savana nga bayambibwako ebitongole ebikuuma ddembe ebirala, banunude emmundu 2 ezakozeseddwa bulumbaganyi obwakoleddwa ku kkolero lyaba-China mu disitulikiti ye Nakaseke.

Poliisi yategezezza ngabasajja ababadde bakakatanye nebijambiya bwebalumbye abasirikale ba poliisi ababadde bakuuma, nebabajako emundu nebabatusaako nobuvune.

Bino byabadde ku kkolero erisa amayinja erya Jiuzhou Stone Quarry Uganda limited erisangibwa e Semutto.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Isah Semwogerere agambye nti ngojeeko emmundu zebanunudde, bakutte nabantu 5 abandina nga bekuusa ku bulumbaganyi buno.

Ebiralala byebazudde, agambye nti baliko emmotoka kika kya Premio namba UAY 325/N gyebakutte ngerimu amajambiya ebyandina nga byakozeseddwa mu bulumbaganyi buno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *