Amawulire

Poliisi ekutte 3 bagiyambeko mu kunoonyereza ku by’okuttibwa kwa Isma Tusuubira aka Jjaja Iculi

Poliisi ekutte 3 bagiyambeko mu kunoonyereza ku by’okuttibwa kwa Isma Tusuubira aka Jjaja Iculi

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Poliisi egamba nti eriko abantu 3 bekutte ngebatebereza okubaako nekyebamanyi ku kuttibwa kwa Ismail Tusuubira abadde amanyiddwa nga Jajja Iculi abadde amanyiddwa ennyo ku mikutu gimugatta bantu.

Ismali yakubwa masasi ekiro ky’olunaku lw’omukaaga bweyali anatera okutuuka wasula mu bitundu by’e Kyanja.

Kati omwogezi wa Poliisi mu gwanga Fred Enanga agamba nti abase Iculi baabadde bamwetegedde era nga amasasi bagamukubye bamusemberedde.

Agamba nti dereeva wa Iculi Mathias Waiswa yomu ku abo abakwatiddwa.

Ayongeddeko nga okunoonyereza okuli mu kukolebwa abakugu kutwaliddemu n’okwekebejja obutambi gattako n’okutunuulira olugendo lwe okuviira ddala e Munyonyo gyaysambira akapiira okutuuka mu kifo webamuttira.

Agamba nti bakwetegereza n’amamasimu agasemba okumukubirwa mu kiro ekyo bweyali tannaba kuttibwa okuzuula ebyaliwo.

Abadde ayogerako eri ab’amawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero.