Amawulire
Poliisi ekutte 2 Entebbe lwakusangibwa ne byókulwanyisa
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Entebbe eriko abantu 2 betadeko obunyogoga lwakusangibwa ne bintu bya basirikale
Abakwate kuliko Tandeka Allan Kanyesigye 38 omutuuze we Buzzi Cell mu Kajansi Town Council ono yasangibwa ne mmundu ate Osinde Omalla John omutuuze ku Garuga Road kigambibwa nti yeyawadde Tandeka emmundu
Bano okukwatibwa kidiridde ekikwekweto ekyakoledwa ewa Kanyesigye gyebazudde pistol ne magazine za masasi 10
Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agambye nti omu yasangibwa ne byambalo ebiraga nti yaliko mu bitongole ebikuuma ddembe