Amawulire

Poliisi ekubye amasasi mu bavubi

Poliisi ekubye amasasi mu bavubi

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2019

No comments

Bya Opio Sam Caleb

Poliisi mu gombolola ye Namasagali mu district ye Kamuli ewaliriziddwa okukuba amasasai omukka ogubalagala mu bbanga, okugumbulula abavubi ababadde balwanagana.

Abavubi be Nsanga Biyiire nabe Kabbeto balumbiddwa, abe Kayunga nebubefuka.

Kitwalidde poliisi obudde okukakanya embeera, ngoluvanyuma abavubi 20 bebakwatiddwa.

Abalala bawereddwa ebitanda mu malwlairo kati bafuna bujanjabi.

Poliisi egamba nti ekyanonyereza okuzuula ekivuddeko entalo zino.