Amawulire
Poliisi ekakasizza obukuumi mu Easter
Bya Ritah Kemigisa
Police ekakasizza obukuumi eri bann-Uganda mu wiiki entukuvu okuyitira ddala mu nnaku enkulu eza Easter.
Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima agambye nti newankubadde egwanga litebenkedde, wabula bali bulindaala kuba abamenyi bamateeka batera okukozesa ennaku zino okunyaga abantu.
Kati abaddumizi bazzi poliisi mu bitundu ebyanjawulo balagiddwa okukuuma obulungi ebiffo ebisanyukirwamu namasinzizo.