Amawulire

Poliisi ekakasizza ebisigalira bya Immaculate Onebbe

Poliisi ekakasizza ebisigalira bya Immaculate Onebbe

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole kya poliisi ekinoyereza ekya Criminal Investigations Directorate (CID) kitegezezza ngomusawo waakyo, bweyakakasizza nti ebisigalira ebyajibwa mu kinnya kya kazambi e Munyonyo, nti byamuntu omu tebaali babiri.

Bino byatukiddwako wakati mu kunonyereza ku kubula nokufa kwa Immaculate Onebbe.

Bba womugenzi nga ye Francis Onebbe yakwatibwa ayambeko mu kufa.

Omwogezi wekitongole kya CID Charles Twine agambye nti baakebedde DNA okuva ku bisigalira nebikwatagana nebyabenganda.

Ebisigalira byomugenzi Immaculate Onebbe byazikiddwa olunnaku lweggulo, kati poliisi egamba nti essira balitadde ku kukungaanya bujulizi bwonna obwetagisa.