Amawulire

Poliisi eggumiza bannauganda ku byókwerinda

Poliisi eggumiza bannauganda ku byókwerinda

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Geoffrey Katsigazi agumizza abantu bonna ku bukuumi obusukkiridde wadde nga gyebuvuddeko gavumenti ya Bungereza ne Amerika zalabudde ku by’obutujju obusuubirwa okukolebwa mu ggwanga lino.

Ku ntandikwa ya wiiki eno Bungereza ne Amerika baafulumizza ekiwandiiko nga balabula bannansi baabwe obutagenda mu bitundu ebirimu abantu abangi nga ekibuga kye Jinja, ekitegese ekivvulu kya Nyege-Nyege.

Ekiwandiiko kya America ne Bungereza kiraga nti abatujju bayinza okuba nga bagenderedde kulumba bannansi b’amawanga amalala. Kyokka Katsigazi agamba nti eggwanga lino lyakusigala ttebenkevu eri buli muntu omuli n’abagenyi okuva munsi endala.

Katsigazi akikkaatirizza nti Uganda ekulaakulanyizza obusobozi bw’omunda okutangira obutujju obw’engeri zonna