Amawulire

Poliisi eggalidde abakoze efujjo ku kitebe kya Saudi-Arabia

Poliisi eggalidde abakoze efujjo ku kitebe kya Saudi-Arabia

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Police mu Kampala ekutte neggalira abavubuka 2, okubadde n’omugoba wa mmotoka ya Ambulance nnamba UAQ 814B, ng’ebalanga kwenyigira mu bikorwa bya bumenyi bw’amateeka ku kitebe kya Saudi Arabia wano mu Kampala.

Bano 2 okukwatibwa kiddiridde ekibinja ky’abavubuka ab’ekibinja kya ‘The Torture Survivors Movement Uganda, okugenda bekalakaasize ku kitebe kya Saudi Arabia mu Uganda, nga beemulugunya ku mbeera ya banna Uganda abakolera mu mawanga ga buwalabu gyebayisibwaamu.

Bano babakutte ne motoka yabwe ng’esangiddwamu ne saduuke y’abafu.

Abavubuka bano bagamba nti banna Uganda bangi abagenda e Buwalabu okukuba ekyeeyo, nebayisibwa mu kutulugunyizibwa okwamanyi naabamu nebafiiramu kyokka nti abakwatibwako tewali kyebakoze okumalawo ekizibu kino.