Amawulire

Poliisi e Tororo esse Omusajja abadde agezaako okutta Omusirikale

Poliisi e Tororo esse Omusajja abadde agezaako okutta Omusirikale

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi e Tororo esse omusajja ow’emyaka 26 ategerekese nga Godfrey Odoi ku bigambibwa nti yalumbye omuserikale wa poliisi n’amulumya.

Kino kiddiridde Odoi omutuuze ku kyalo Poti ekiri mu town council y’e Iyolwa mu disitulikiti y’e Tororo okulwanagana ne Francis Musamali omuserikale avunaanyizibwa ku poliisi y’e Iyolwa.

Amawulire galaga nti Odoi yatemye Musamali ekiso ku mutwe n’agezaako okudduka wabula nakwatibwa.

Oluvanyuma lwókukwatibwa kigambibwa nti yazzeemu okugezaako okutuusa obulabe ku OC, ekyawalirizza poliisi okuyingira mu nsonga zino.

Mu kugezaako okumuggyako emmundu, omuserikale yakubye Odoi amasasi mu kigere.

Mose Mugwe, omwogezi wa poliisi mu Bukedi South agamba nti Odoi yafudde oluvanyuma olw’okuvaamu omusaayi omungi bwe yali atwalibwa mu ddwaaliro e Tororo