Amawulire
Poliisi e Mpigi eriko gw’ekutte ne byambalo by’amaggye
Bya Mbogo Sadat, Poliisi mu disitulikiti ey’e Mpigi eriko omukuumi gw’ekutte ng’ono asangiddwa n’ebyambalo by’amagye ebiwerako.
Okusinziira kw’akola ng’omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Katonga, Joseph Tulya, omukwate amumenye nga Lwalanda Grace Mugaya ng’ono mukuumi wa kampuni ey’obwannanyini emanyiddwanga Saracene.
Okumukwata, Tulya agambye asangiddwa mu katawuni k’e Kamengo ng’alina gyalaga awatannategeerekeka.
Aguddwako gwa kusangibwa na bikozesebwa amagye nga ssi wa magye, era mukiseera kino akuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi nga okumunonyerezaako kugenda mu maaso.